1 Samuel 7

1 aAwo abantu b’e Kiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi. Ne bayawula Eriyazaali mutabani we okuvunaanyizibwa essanduuko ya Mukama
Essanduuko ya Mukama yasigalayo okutuusa Dawudi lwe yagizzaayo e Yerusaalemi (2Sa 6:2-3)
.

Abafirisuuti Bawangulwa e Mizupa

2Essanduuko n’emala mu Kiriyasuyalimu ebbanga ddene, eryawerera ddala emyaka amakumi abiri, era abantu b’ennyumba ya Isirayiri bonna baali banakuwavu era nga banoonya Mukama. 3 cAwo Samwiri n’agamba ennyumba ya Isirayiri yonna nti, “Obanga mudda eri Mukama n’omutima gumu, muggyeewo bakatonda abagwira ne Baasutoleesi, mmweweeyo eri Mukama gwe muba muweerezanga yekka, era anaabalokola okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” 4Awo Abayisirayiri ne bava ku Babaali ne Baasutoleesi, ne baweerezanga Mukama yekka.

5 dSamwiri n’ayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isirayiri yenna e Mizupa, mbegayiririre eri Mukama.” 6 eBwe baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagayirira mu maaso ga Mukama, ne basiiba era ne baatula ebibi byabwe nga boogera nti, “Twonoonye eri Mukama.” Olwo Samwiri nga ye mukulembeze era omulamuzi wa Isirayiri e Mizupa.

7 fAwo Abafirisuuti bwe baawulira nga Abayisirayiri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abafuzi b’Abafirisuuti ne babalumba. Abayisirayiri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti. 8 gNe bagamba Samwiri nti, “Tolekeraawo kutukaabiririra eri Mukama Katonda waffe, atulokole okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” 9 hAwo Samwiri n’addira omwana gw’endiga oguyonka n’aguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, n’akaabirira Mukama ku lwa Isirayiri, Mukama n’amuddamu.

10 iKu lunaku olwo Samwiri bwe yali ng’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, Abafirisuuti ne basembera okulwanyisa Isirayiri, naye Mukama n’abwatuka okubwatuka okw’amaanyi, Abafirisuuti ne batya nnyo, era ne badduka Abayisirayiri. 11Abasajja Abayisirayiri ne bava e Mizupa ne bagoba Abafirisuuti, ne bagenda nga babatta okutuukira ddala ku Besukali.

12 jAwo Samwiri n’addira ejjinja n’aliteeka wakati wa Mizupa ne Seni, ekifo ekyo n’akituuma Ebenezeri
Ebenezeri kitegeeza ejjinja ery’obuyambi
, ng’agamba nti, “Mukama atuyambye okutuusa kaakano.”
13 lAbafirisuuti ne bawangulwa, ne bataddayo nate kulumba Isirayiri. Era ennaku zonna eza Samwiri, omukono gwa Mukama ne gunyigiriza Abafirisuuti. 14Abayisirayiri ne beddiza ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali babawambyeko okuva mu Ekulooni okutuuka e Gaasi, ate era Isirayiri n’anunula ebitundu ebyali biriraanyeewo okuva mu buyinza bw’Abafirisuuti. Ne waba okutabagana wakati wa Isirayiri n’Abamoli
Erinnya Abamoli likozesebwa okutegeeza Abakanani bonna
.

15 nSamwiri n’alamula era n’afuga Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwe. 16Buli mwaka n’agendanga e Beseri, n’e Girugaali n’e Mizupa
Beseri, ne Girugaali ne Mizupa bye bibuga ebisatu mu ssaza lya Benyamini ebifo awaasinzizibwanga (laba Yos 4:19)
mu mpalo ng’alamula Isirayiri mu bifo ebyo byonna.
17 pN’oluvannyuma yakomangawo e Laama, amaka ge gye gaabeeranga, nayo n’alamulirayo Isirayiri. N’azimbirayo Mukama ekyoto.

Copyright information for LugEEEE